Wikipedia
lgwiki
https://lg.wikipedia.org/wiki/Olupapula_Olusooka
MediaWiki 1.44.0-wmf.4
first-letter
Media
Special
Talk
User
User talk
Wikipedia
Wikipedia talk
File
File talk
MediaWiki
MediaWiki talk
Template
Template talk
Help
Help talk
Category
Category talk
TimedText
TimedText talk
Module
Module talk
Elio Capradossi,
0
11092
36442
36440
2024-11-26T23:56:05Z
InternetArchiveBot
6271
Rescuing 2 sources and tagging 0 as dead.) #IABot (v2.0.9.5
36442
wikitext
text/x-wiki
[[File:ElioCapradossi (cropped).jpeg|thumb|Elio Capradossi nga Akyazannyira Cagliari]]
'''Elio Capradossi''' (yazaalibwa 11 Ogwokusatu 1996) [[Omupiira ogw'ebigere|muzannyi wa mupiira]] munna Uganda era nga omupiira ogwensimbi aguzannyira mu kiraabu ya [[:en:AS_Cittadella|Cittadella]] ezannyira mu kibinja ekya Serie B nga kino kyekibinja ekiddirira eky'okuntikko mu gwanga lya [[Italy]]. <ref name="soccerway">https://int.soccerway.com/players/elio-capradossi/273829/</ref> Yadde nga Capradossi azannya nga omuzibizi ku [[Uganda Cranes|ttiimu y’eggwanga Uganda]], yazannyirako ne ttiimu zabavubuka ez'eggwanga lya Italy.
== Nga omuzannyi wa kiraabu ==
Capradossi yava mu ttendekero (Academy) lya kiraabu eya [[:en:A.S._Roma|Roma]] . Mu sizoni ya 2015–2016, Capradossi Yaakulembera kiraabu ya [[:en:A.S._Roma_Primavera|Roma eyabali wansi w'emyaka 19]] nga kapiteeni okuwangula [[:en:Campionato_Nazionale_Primavera|empaka zabali wansi w'emyaka 19]] mu ggwanga lya Italy.
Mu katale k'okyuusa abazannyi ak'omwaka 2016 yeegatta ku kiraabu ya [[:en:F.C._Bari_1908|Bari]] mu [[:en:Serie_B|Serie B]] ku buyazike bwatyo nazannya omupiira gwe ogwa liigi ogwasooka nga 24 Ogwomwenda 2016 kiraabu ye bweyali ezannya ne [[:en:Benevento_Calcio|Benevento]] ku kisaawe ekiyitibwa [[:en:Stadio_San_Nicola|Stadio San Nicola]] . Capradossi ku Bari yamalayo sizoni emu n'ekitundu era bwatyo nadda ku kiraabu ya Roma ku ntandikwa ya 2018. <ref name=":0">https://calcio.fanpage.it/chi-e-elio-capradossi-il-nuovo-juan-dal-bari-all-esordio-in-campionato-con-la-roma/</ref>
Nga 6 Ogwokutaano 2018 yazannya omupiira gwe ogwasooka ku kiraabu ya [[:en:A.S._Roma|AS Roma]] enkulu era mu mupiira ogwo baawangula kiraabu ya [[:en:Cagliari_Calcio|Cagliari]] mu maka gaayo ggoolo 1-0 era nga Capradossi omupiira guno yagutandika.
Mu Gwomusanvu 2018 Capradossi yaddamu okugenda ku buyazike ku kiraabu eyitibwa [[:en:Spezia_Calcio|Spezia]] nga nayo ya kibinja kya Serie B era nabeerayo okutuusa mu Gwomukaaga 2019. <ref>https://m.tuttomercatoweb.com/serie-b/ufficiale-spezia-arriva-capradossi-dalla-roma-1136670</ref>
Mu mwezi gwomunaana ku ntandikwa ya sizoni ya 2019, Capradossi yassa omukono ku ndagaano ya myaka ena okuzannyira Kiraabu ya [[:en:Spezia_Calcio|Spezia]].
Capradossi nga amaze okwegatta ku [[:en:Spezia_Calcio|Spezia Calcio]] ku ndagaano ey'enkalakkalira ate yafuna okusoomozebwa oluvannyuma lwokufuna obuvune mu mwezi Ogwomusanvu 2020 era obuvune buno nebumulemesa okuzannya omupiira okumala emyezi kumi egyaddirira kyokka oluvannyuma yawona era omupiiira wakati wa Spezia ne Roma gwamukomyawo okuzannya mu [[:en:Serie_A|Serie A]] oluvannyuma lw’emyaka esatu. <ref>https://www.cittadellaspezia.com/la-spezia/sport/elio-capradossi-dieci-mesi-dopo-335444.aspx</ref><ref>https://www.acspezia.com/news/mercato-elio-capradossi-torna-in-maglia-bianca.20372.html</ref>
Mu Gwomwenda 2022, Capradossi yegatta ku kiraabu ya [[:en:Cagliari_Calcio|Cagliari]] kundagaano ya myaka ebiri.Kyokka oluvannyuma waaliwo okukaanya wakati wenjuyi zombi endagaano eno nesazibwamu <ref>{{Cite web |title=Archive copy |url=https://www.cagliaricalcio.com/news/ultimissime/22182/capradossi-e-del-cagliari-acquisto-a-titolo-definitivo |access-date=2024-11-26 |archive-date=2022-09-01 |archive-url=https://web.archive.org/web/20220901191815/https://www.cagliaricalcio.com/news/ultimissime/22182/capradossi-e-del-cagliari-acquisto-a-titolo-definitivo |url-status=dead }}</ref> <ref>{{Cite web |title=Archive copy |url=https://www.cagliaricalcio.com/news/ultimissime/23550/risoluzione-contrattuale-con-capradossi |access-date=2024-11-26 |archive-date=2024-01-22 |archive-url=https://web.archive.org/web/20240122214951/https://www.cagliaricalcio.com/news/ultimissime/23550/risoluzione-contrattuale-con-capradossi |url-status=dead }}</ref>
Nga 2 Ogwokubiri 2024, Capradossi yeegatta ku kiraabu ya [[:en:Calcio_Lecco_1912|Lecco]] ezannyira mu kibinja kya [[:en:Serie_B|Serie B]] . <ref>https://calciolecco1912.com/ufficiale-capradossi-e-un-nuovo-giocatore-lecchese/</ref>
Nga 25 Ogwekkuminogumu 2024, Capradossi yegatta ku [[:en:AS_Cittadella|Cittadella]] nayo nga ya kibinja ekyokubiri ekiyitibwa [[:en:Serie_B|Serie B]] . <ref>https://www.ascittadella.it/in-evidenza/elio-capradossi/</ref>
== Omupiira kumutendera gwamawanga ==
Capradossi yasooka kuzannyira ttiimu [[:en:Italy_national_under-17_football_team|ya Yitale eyabali wansi w'emyaka 17]] neyeetaba mu [[:en:2013_UEFA_European_Under-17_Championship|mpaka za mawanga ga Bulaaya ez'abali wansi w'emyaka 17 mu 2013]] kwossa n'okuzannya mu [[:en:2013_FIFA_U-17_World_Cup|mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna ekyabali wansi w'emyaka 17]] mu mwaka 2013.
ku mutendeera gwabali wansi w'emyaka 21 era yazannyira [[:en:Italy_national_under-21_football_team|ttiimu ya Italy]] era omupiira gwe ogwasooka ku mutendera guno yaguzannya nga 5 Ogwekkumi 2017 nebawangula eggwanga lya [[:en:Hungary_national_under-21_football_team|Hungary]] ggoolo 6-2 mu mupiira ogwomukwano.
Ono mu June wa 2024 yayitibwa ku ttiimu ya [[Uganda Cranes|Uganda]] era bwatyo nakkiriza nakyuusa eggwanga lyazannyira era nga kino kyasoboka kuba Capradossi yazaalibwa mu kibuga [[Kampala]].<ref>https://kawowo.com/2018/07/25/elio-capradossi-a-ugandan-born-footballer-who-has-captained-the-italian-u-20-team/</ref> <ref>https://www.fufa.co.ug/uganda-cranes-squad-for-2026-fifa-world-cup-qualifier-matches-against-botswana-algeria/</ref> Yasooka okuzannyira Uganda nga 7 June 2024 mu mupiira [[:en:2026_FIFA_World_Cup_qualification_–_CAF_Group_G|gw'okusunsulamu abanazannya World Cup]] wakati wa Uganda ne [[:en:Botswana_national_football_team|Botswana]] mu kisaawe kya [[Ekisaawe ky'eggwanga ekya Mandela|Namboole]] era nazannya eddakiika zonna Uganda nga ewangula ggoolo 1:0<ref>https://www.espn.com/soccer/match/_/gameId/687312/
</ref>
== Enzannya ye ==
Capradossi abasinga bamugerageeranya nomuzannyi munnansi wa Yitale [[:en:Angelo_Ogbonna|Angelo Ogbonna]] olw’enzannya erimu okukozesa amaanyi, kwossa n'obukoddyo ate nga n'obuwanvu kyenkana babwenkanya. <ref name="italianfootballdaily1">https://web.archive.org/web/20180218090938/http://www.italianfootballdaily.com/elio-capradossi-new-ogbonna-roma/</ref> Capradossi mukugu nyo mukugaba omupiira, kwossa n'okugwa mu nnumba z'omulabe nga aziyiza omupiira okutuuka eri oyo gweguba guweerezeddwa. Ono era ayina amanyi mu mubiri ekimusobozesa okuzannya obulunji kwossa obusobozi mu kutomera omupiira <ref>https://web.archive.org/web/20131102230937/http://talentshunter.wordpress.com/2013/05/15/elio-capradossi/</ref>
== Obulamu obwabulijjo ==
Capradossi yazaalibwa mu kibuga kya [[Yuganda|Uganda]] ekikulu [[Kampala]] nga kitaawe munnansi wa [[Yitale]] ate nga maama we asibuka mu ggwanga lya [[Democratic Republic of Congo|D.R. Congo]]. Bweyali aweza emyaka ebiri yasengukira mu ggwanga lya Yitale nebazadde be era nafuna obutuuze. Kitaawe yakulirako Kiraabu ya Roma ey'omuzannyo gwa Rugby.
== Ebiwandiiko ebikozesebwa ==
l9ukflro633cy3wheveosgd1t1nnj87
Mpigi
0
11093
36441
2024-11-26T18:48:02Z
ESTHER NAKITENDE
9175
Created by translating the page "[[:en:Special:Redirect/revision/1251860828|Mpigi]]"
36441
wikitext
text/x-wiki
{{Infobox settlement|official_name=Mpigi|other_name=|native_name=<!-- for cities whose native name is not in English -->|nickname=|settlement_type=<!--For Town or Village (Leave blank for the default City)-->|motto=<!-- images and maps ----------->|image_skyline=Weather in Nakirebe Mpigi District.jpg|imagesize=|image_caption=|image_flag=|flag_size=|image_seal=|seal_size=|image_shield=|shield_size=|image_blank_emblem=|blank_emblem_type=|blank_emblem_size=|image_map=|mapsize=|map_caption=|image_map1=|mapsize1=|map_caption1=|image_dot_map=|dot_mapsize=|dot_map_caption=|dot_x=|dot_y=|pushpin_map=Uganda<!-- the name of a location map as per http://en.wikipedia.org/wiki/Template:Location_map -->|pushpin_label_position=bottom|pushpin_map_caption=Location in Uganda
<!-- Location ------------------>|subdivision_type=Country|subdivision_name=[[File:Flag of Uganda.svg|25px]] [[Uganda]]|subdivision_type1=[[Regions of Uganda|Region]]|subdivision_name1=[[Central Region, Uganda|Central Uganda]]|subdivision_type2=[[Districts of Uganda|District]]|subdivision_name2=[[Mpigi District]]|subdivision_type3=|subdivision_name3=|subdivision_type4=|subdivision_name4=<!-- Politics ----------------->|government_footnotes=|government_type=|leader_title=[[Mayor]]|leader_name=|leader_title1=<!-- for places with, say, both a mayor and a city manager -->|leader_name1=|leader_title2=|leader_name2=|leader_title3=|leader_name3=|leader_title4=|leader_name4=|established_title=<!-- Settled -->|established_date=|established_title2=<!-- Incorporated (town) -->|established_date2=|established_title3=<!-- Incorporated (city) -->|established_date3=<!-- Area --------------------->|area_magnitude=|unit_pref=Imperial <!--Enter: Imperial, if Imperial (metric) is desired-->|area_footnotes=|area_total_km2=<!-- ALL fields dealing with a measurements are subject to automatic unit conversion-->|area_land_km2=<!--See table @ Template:Infobox Settlement for details on automatic unit conversion-->|area_water_km2=|area_total_sq_mi=|area_land_sq_mi=|area_water_sq_mi=|area_water_percent=|area_urban_km2=|area_urban_sq_mi=|area_metro_km2=|area_metro_sq_mi=|area_blank1_title=|area_blank1_km2=|area_blank1_sq_mi=<!-- Population ----------------------->|population_as_of=2020 Estimate|population_footnotes=|population_note=|population_total=49500<ref name="1R"/>|population_density_km2=|population_density_sq_mi=|population_metro=|population_density_metro_km2=|population_density_metro_sq_mi=|population_urban=|population_density_urban_km2=|population_density_urban_sq_mi=|population_blank1_title=Ethnicities|population_blank1=|population_blank2_title=Religions|population_blank2=|population_density_blank1_km2=|population_density_blank1_sq_mi=<!-- General information --------------->|timezone=|utc_offset=|timezone_DST=|utc_offset_DST=|elevation_footnotes=<!--for references: use <ref> tags-->|elevation_m=1217|elevation_ft=<!-- Area/postal codes & others -------->|postal_code_type=<!-- enter ZIP code, Postcode, Post code, Postal code... -->|postal_code=|area_code=|blank_name=|blank_info=|blank1_name=|blank1_info=|website=|footnotes=}}'''Ekibuga ky'Empigi kisangibwa''' mu ssaza ly'e Mawokota mu [[:en:Mpigi District|Disitulikiti y'e Mpigi]], mu [[:en:Central_Region,_Uganda|masekkati ga Uganda]] . Mpigi kitebe kya munisipaali, enzirukanya y’emirimu n’ebyobusuubuzi mu Disitulikiti eyo. Disitulikiti eno yatuumibwa erinnya ly’ekibuga lyennyini. <ref name="2R">https://ugandaradionetwork.net/story/mpigi-town-turns-to-real-estate-industrialization-to-boost-development-</ref>
== Ekifo wekisangibwa ==
Mpigi kibuga kikulu ekiyitamu abantu nga kisangibwa kilometres 40 (25 mi) mu bukiikaddyo bw’amaserengeta ga [[:en:Kampala|Kampala]], [[:en:Capital_city|ekibuga ekikulu e]]<nowiki/>kya [[:en:Uganda|Uganda]] era nga kye kisinga obunene, ku [[:en:Kampala–Masaka_Road|luguudo lwa Kampala–Masaka]] . <ref name="3R">https://www.google.com/maps/dir/Kampala/Mpigi/@0.2974353,32.400134,11z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!2m2!1d32.5825197!2d0.3475964!1m5!1m1!1s0x177d750f28c294df:0x8f8fd279a8b29d41!2m2!1d32.3249236!2d0.2273528!3e0</ref> Ekibuga Mpigi we kiri kigifuula ekifo eky'okuyingirira mu disitulikitie z'enjawu kuli [[:en:Mpigi_District|Mpigi]], [[:en:Wakiso_District|Wakiso]], [[:en:Butambala_District|Butambala]], [[:en:Gomba_District|Gomba]], [[:en:Mityana_District|Mityana]], [[:en:Kalungu_District|Kalungu]] ne [[:en:Kalangala_District|Kalangala]], nga bayita ku myalo egyenjawulo okukka ku lubalama [[:en:Lake_Victoria|lw'ennyanja Victoria]] . Ku lusozi Mbale olusangibwa munda mu kibuga mukibuga kino, okusibuka omu ku bakatonda b'ennono abamanyiddwa ennyo mu [[:en:Buganda|Buganda]] ; Kibuuka Omumbaale. kulusozi luno kwe kuli embuga y'ab'ekika ky'e "Ndiga" (endiga). Endagiriro y'ekibuga ku maapu eri 0°13'48.0"N 32°19'48.0"E (Latitude:0.2300, Longitude:32.3300). <ref name="4R">https://www.google.com/maps/place/0%C2%B013'48.0%22N+32%C2%B019'48.0%22E/@0.2281596,32.3259667,1570m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.23!4d32.33</ref> Mpigi Town Council etudde ku buwanvu bwa 1,217 metres (3,993 ft) waggulu [[:en:Mean_sea_level|w’obugulumivu bw’ennyanja obutereevu]] . <ref name="5R">https://www.floodmap.net/Elevation/ElevationMap/?gi=229024</ref>
== obungi bw'abantu ==
Mu kubala abantu mu ggwanga mu mwaka gwa 2002, abantu mu kibuga ky'eMpigi baali emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bina34,400. Ate mu mwaka gwa 2010, ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) ekivunanyizibwa ku bibalo, kyabalirira nti omuwendo gw’abantu mu kibuga kino gwali mu mitwalo esatu mu kanaana mu mu bisatu 38,300. Mu mwaka gwa 2011, UBOS yabalirira nti omuwendo gw’abantu mu Mpigi gwali emitwalo esatu mu kanaana mu lunaana 38,800. <ref name="6R">https://web.archive.org/web/20140707231502/http://www.ubos.org/onlinefiles/uploads/ubos/pdf%20documents/TP52010.pdf</ref> Ate mu mwaka gwa 2014, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwalaga nti omuwendo gw’abantu mu Mpigi gwalinya ku bantu emitwalo enna mu enkumisatu mu bisatu mu nkaaga 43,360. <ref name="7R">https://www.citypopulation.de/en/uganda/cities/</ref>
Mu mwaka gwa 2015, ekitongole kya UBOS kyabalirira nti abantu b’omu kibuga kino baali bali mu mitwalo enna mu enkumi nnya mu bibri 44,200. Mu mwaka gwa 2020, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bungi bw’abantu mu gwanga kyabalirira nti abantu b’e Mpigi mu makkati g’omwaka baali bakunukiriza emitwalo enna mu kenda mu bitano 49,500, nga ku bano abantu emitwalo ebiri mu enkumitaano mu bibri 25,200 (50.9 ku buli 100) baali bakyala ate 24,300 (49.1 ku buli 100) baali basajja. Ekitongole kya UBOS kyabalirira nti omuwendo gw’abantu mu Mpigi Town gwakula ku kigero kya wakati wa bitundu 2.29 ku buli 100 buli mwaka, wakati w'omwaka gwa 2015 ne 2020. <ref name="1R">https://www.citypopulation.de/en/uganda/central/admin/mpigi/SC0399__mpigi/</ref>
== Laba nabino byamugaso ==
Ebifo bino wammanga bisangibwa munda mu Mpigi oba okumpi n’ensalo zaakyo: <ref name="4R">https://www.google.com/maps/place/0%C2%B013'48.0%22N+32%C2%B019'48.0%22E/@0.2281596,32.3259667,1570m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.23!4d32.33</ref>
1. 1. . Ekitebe [[:en:Mpigi_District|ky’abaddukanya disitulikiti y’e Mpigi]]
2. 2..ofiisi za town councel y'ekibuga
3. 3. . Akatale ka Mpigi Central market
4. 4. . Kkooti y'omulamuzi omukulu e Mpigi
5. 5. . Mpigi Military Barracks, ekitongole ekitandikibwawo eggye lya [[:en:Uganda_People's_Defence_Force|Uganda People's Defence Force]]
6. 6. . Police Barracks e mpigi, nga yatekeebwawo ekitongole kya [[:en:Uganda_Police|Poliisi ya Uganda]]
7. 7. . Ekkomera e Mpigi nga lino lyatandikibwawo ekitongole ky’amakomera mu Uganda
8. . [[:en:Mpigi_Hospital|Mpigi Hospital]], eddwaliro ly'ebitanda 100 nga liddukanyizibwa [[:en:Uganda_Ministry_of_Health|minisitule y'ebyobulamu mu Uganda]] <ref name="8R">https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mpigi-health-unit-suspends-surgeries-over-water-crisis-1877148</ref>
9. 9. . [[:en:Kampala-Mpigi_Expressway|Oluguudo lwa Kampala-Mpigi Expressway]], oluguudo [[:en:Dual_carriageway|olusasulwa emirongooti]] ena wakati wa Kampala ne Mpigi, nga luzimbibwa, nga lusuubirwa okuggwa mu 2025. <ref>https://chimpreports.com/how-the-busega-mpigi-express-way-will-ease-transport-spur-economic-devt/</ref>
== Engoma ==
Ekibuga kino kimanyiddwa nnyo ng'ekibuga ekikulu eky'amakolero g'engooma nga [[:en:Ngoma_drums|ngoma drums]] . Engoma zonna wano zikoleddwa n’emikono. <ref name="9R">https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/drum-makers-decry-competition-3584626?view=htmlamp</ref>
== Laba nabino ==
* [[:en:Mpigi_District|Disitulikiti y’e Mpigi]]
* [[:en:Central_Region,_Uganda|Central Region, Uganda]]
* [[:en:List_of_cities_and_towns_in_Uganda|Olukalala lw'ebibuga n'obubuga mu Uganda]]
== Ebiwandiiko ebikozesebwa ==
[[Category:Mpigi (disitulikit)]]
rg42msxlujbwmg8p5eba5wo5a97a5d0